Numbers 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigaali ebirala ebina n'ente omunaana n'abiwa aba Merari ng'agerera ku mirimu gyabwe kye gibeetaagisa. Bano baali bakulirwa Yitamari mutabani wa Aroni kabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’addira amagaali ana n’ente munaana n’abiwa batabani ba Merali, ng’emirimu gyabwe bwe gyali; bonna nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni, kabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'amagaali ana n'ente munaana n'abiwa ab'olulyo lwa Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali; wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amagaali ana n'ente munaana n'abikwasa Abamerari, ng'asinziira ku mulimu gwe baalina okukola, nga bonna balabirirwa Yitamaari mutabani wa Arooni kabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'amagaali ana n'ente munaana bye yawa batabani ba Merali, ng'okuweereza kwabwe bwe kwali, wansi w'omukono gwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.