Numbers 7:83 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ente ennume bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'obuliga obulume butaano obuwezezza omwaka, olw'ekitambiro eky'okussa ekimu. Ebyo bye byali mu kitone kya Akira mutabani wa Enani kye yaleeta.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era olwa ssaddaaka ey’ebiweebwayo olw’emirembe: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n’abaana b’endiga abalume bataano abawezezza omwaka gumu gumu ogw’obukulu. Ekyo kye kyali ekiweebwayo eri Mukama ekya Akira mutabani wa Enani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abawezezza omwaka. Ekyo kye kyali ekiweebwayo kya Akira mutabani wa Enani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'eby'ekitambiro ekiweebwayo olw'okutabagana: ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, n'endiga ento ennume ttaano ez'omwaka ogumu. Ekyo kye kitone Ahira mutabani wa Enani kye yawaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe, ente bbiri, endiga ennume ttaano, embuzi ennume ttaano, abaana b'endiga abalume bataano abatannamala mwaka gumu: ekyo kye kyali ekitone kya Akira mutabani wa Enani.