Numbers 7:84 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo abakulu mu Yisirayeli bye baaleeta okutukuza omwaliiro ku lunaku lwe gwasiigibwa omuzigo: essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya ebya ffeeza eby'okukozesa mu kumansira kkumi na bibiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bino bye biweebwayo abakulembeze ba Isirayiri bye baaleeta olw’okutukuza ekyoto ku lunaku lwe kyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni: essowaani eza ffeeza kkumi na bbiri, ebibya omubeera eby’okumansira kkumi na bibiri, n’ebijiiko ebinene ebya zaabu kkumi na bibiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukibwako amafuta mu mikono gy'abakulembeze ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri (12) ebya zaabu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye bitone ebyaweebwayo abakulembeze ba Yisirayeli olw'okuwonga alutaari, ku lunaku lwe yafukibwako omuzigo: ensaniya kkumi na bbiri eza ffeeza; ebbakuli kkumi na bbiri eza ffeeza ezikozesebwa mu kumansira; n'ebijiiko ebinene kkumi na bibiri ebya zaabu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuno kwe kwali okutukuza ekyoto, ku lunaku kwe kyafukirwako amafuta mu mikono gy'abakulu ba Isiraeri: essowaani kkumi na bbiri eza ffeeza, ebibya kkumi na bibiri ebya ffeeza, ebijiiko kkumi na bibiri ebya zaabu: