Numbers 7:85 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli ssowaani yali ezitowa sekeli kikumi mu asatu, ate buli kibya eky'okukozesa mu kumansira nga kizitowa sekeli nsanvu; okukwatira awamu, ebya ffeeza nga bizitowa sekeli enkumi bbiri mu bina, ng'ogerera ku sekeli ey'omu Kitukuvu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli sowaani eya ffeeza ng’epima obuzito bwa kilo emu n’ekitundu, na buli kibya omubeera eby’okumansira nga kipima obuzito bwa butundu bwa kilo, munaana. Okugatta awamu obuzito bw’essowaani ezo zonna n’obw’ebibya ebyo byonna bwali bupima kilo amakumi abiri mu munaana ng’ebipimo by’awatukuvu bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu (130), na buli kibya sekeri nsanvu (70); effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina (2,400), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli lusaniya olwa ffeeza nga luzitowa kilo ng'emu n'ekitundu, na buli bbakuli ng'ezitowa gulaamu nga lunaana. Ebintu byonna ebya ffeeza byaweza obuzito bwa kilo amakumi abiri mu musanvu ne gulaamu nga lukaaga, mu kipimo eky'omu Kifo Ekitukuvu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
buli ssowaani eya ffeeza sekeri kikumi mu asatu, na buli kibya sekeri nsanvu: effeeza yonna ey'ebintu sekeri enkumi bbiri mu bina, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri;