Numbers 7:86 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebijiiko ebisena obubaani ebya zaabu kkumi na bibiri, ebijjudde obubaani, buli kimu nga kizitowa sekeli kkumi, ng'ogeredde ku sekeli ey'omu Kitukuvu; okukwatira awamu ebijiiko ebya zaabu byazitowa sekeli kikumi mu abiri;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebijiiko ebya zaabu ebinene ekkumi n’ebibiri ebyali bijjudde ebyakaloosa buli kimu, byali bipima obuzito kilo kikumi mu kkumi na musanvu, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri. Okugatta awamu ebijiiko byonna byapima obuzito bwa kilo emu ne desimoolo nnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri (12), ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi (10), nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri, zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri (120).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebijiiko ebinene byali kkumi na bibiri ebya zaabu ebijjudde obubaane, nga buli kimu kya gulaamu nga kikumi mu kkumi, mu kipimo eky'omu Kifo Ekitukuvu. Ebijiiko byonna ebinene ebya zaabu, byaweza obuzito bwa kilo emu ne gulaamu nga bisatu mu abiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebijiiko ebya zaabu kkumi na bibiri, ebijjudde obubaane, buli kijiiko sekeri kkumi, nga sekeri ey'omu watukuvu bw'eri: zaabu yonna ey'omu bijiiko sekeri kikumi mu abiri: