Numbers 7:87 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebisolo byonna awamu olw'ekitone ekyokye zaali ente ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, obuliga obulume obw'omwaka ogumu kkumi na bubiri, wamu n'ekitone kyakyo eky'okuyiwa; embuzi ennume kkumi na bbiri ez'ekitambiro olw'ekibi;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olw’ekiweebwayo ekyokebwa gwali bwe guti: ente ento ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu gumu baali kkumi na babiri, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke n’ebigenderako. Embuzi ennume kkumi na bbiri ze zaakozesebwa olw’ekiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa, kkumi na bbiri endiga ennume kkumi na bbiri (12), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka, kkumi na babiri (12), n'obutta bwabyo obuweebwayo; n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri (12).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensolo zonna ez'ekiweebwayo ekyokebwa, zaali ente ennume kkumi na bbiri, endiga ennume kkumi na bbiri, endiga ento ennume ez'omwaka ogumu kkumi na bbiri, awamu n'ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke ebigenderako; era n'embuzi ennume kkumi na bbiri ez'ekiweebwayo olw'ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ente zonna okuba ekiweebwayo ekyokebwa kkumi na bibiri, endiga ennume kkumi na bbiri, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu kkumi na babiri, n'obutta bwabyo obuweebwayo: n'embuzi ennume okuba ekiweebwayo olw'ekibi kkumi na bbiri: