Numbers 7:88 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ebisolo byonna awamu olw'ekitambiro eky'okussa ekimu byali ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, n'obuliga obulume obw'omwaka ogumu nkaaga. Bino bye bitone ebyaleetebwa okutukuza omwaliiro lwe gwasiigibwa omuzigo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuwendo gwonna ogw’ebisolo ebyaweebwayo olwa ssaddaaka y’ekiweebwayo olw’emirembe gwali bwe guti: ente ennume amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga n’abaana b’endiga abato abalume ab’omwaka ogw’obukulu ogumu ogumu nabo nkaaga. Ebyo bye byali ebiweebwayo olw’okutukuza ekyoto nga kimaze okufukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ente zonna okuba ssaddaaka ey'ekiweebwayo eky'emirembe abiri mu nnya (24), endiga ennume nkaaga (60), embuzi ennume nkaaga (60), abaana b'endiga abalume abawezezza omwaka nkaaga (60). Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate ensolo zonna ez'ekiweebwayo olw'okutabagana, zaali ente amakumi abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, n'endiga ento ennume ez'omwaka ogumu, nkaaga. Ebyo bye bitone bye baawaayo okuwonga alutaari ng'emaze okufukibwako omuzigo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'ente zonna okuba ssaddaaka ey'ebiweebwayo olw'emirembe ente abiri mu nnya, endiga ennume nkaaga, embuzi ennume nkaaga, abaana b'endiga abalume abatannamala mwaka gumu nkaaga. Okwo kwe kwali okutukuza ekyoto, bwe kyamala okufukibwako amafuta.