Numbers 7:89 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa bwe yayingira mu Weema y'Endagaano ayogere naye, n'awulira eddoboozi eryogera nga liva wakati wa bakerubi ababiri ku Ntebe y'Obusaasizi eyali ku Sanduuku ey'Endagaano. N'ayogera naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa bwe yayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu okwogera ne Mukama, n’awulira eddoboozi nga lyogera gy’ali nga liva wakati wa bakerubbi ababiri abali waggulu w’entebe ey’okusaasira eri ku Ssanduuko ey’Endagaano. Ne lyogera naye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa bwe yayingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu okwogera ne Mukama, n'alyoka awulira Eddoboozi nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku ssanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi. Mukama n'ayogera naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yayingira mu Weema Ey'Okusisinkanirangamu Mukama okwogera ne Mukama, n'awulira eddoboozi ery'oyo ayogera naye ng'asinziira waggulu w'entebe ey'obusaasizi eyali ku Ssanduuko ey'Endagaano, wakati wa bakerubi bombi. N'ayogera naye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa bwe yayingira mu weema ey'okusisinkanirangamu okwogera naye, n'alyoka awulira Eddoboozi eryo nga lyogera naye nga liyima waggulu ku ntebe ey'okusaasira eyali ku sanduuko ey'obujulirwa, wakati wa bakerubi bombi: n'ayogera naye.