Numbers 7:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aba Kewati teyabawa bigaali na nte kubanga ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baali ba kubyetikkanga ku bibegabega byabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaana ba Kokasi, Musa teyabawaako, kubanga ebintu ebitukuvu bye baalinako obuvunaanyizibwa baabitwaliranga ku bibegabega byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ab'olulyo lwa ba Kokasi bo tebaaweebwa; kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okusitula, babisituliranga ku bibegabega byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bo Abakohati teyabawa, kubanga ebintu ebitukuvu bye baaweebwa okulabiriranga, baabisituliranga ku bibegabega byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye batabani ba Kokasi teyabawaako: kubanga okuweereza okw'omu watukuvu kwali kwabwe; baakusituliranga ku bibegabega byabwe.