Numbers 8:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni anaaweereza Abaleevi eri Omukama mu kitone eky'okuwuuba ekivudde mu Bayisirayeli, bwe batyo basaanire okukola omulimu gw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni ajja kuwaayo Abaleevi eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa ekivudde mu baana ba Isirayiri, bwe batyo babe nga beetegese okukola omulimu gwa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku lw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okuweereza Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni n'abampongera babe bange mu ngeri ey'enjawulo, ekitone ekivudde mu Bayisirayeli, Abaleevi bafuuke abaweereza bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni n'awaayo Abaleevi mu maaso ga Mukama okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, ku bw'abaana ba Isiraeri, babeerenga ab'okukola okuweereza kwa Mukama.