Numbers 8:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Aroni ne batabani be, obaweereze Omukama mu kitone eky'okuwuuba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ojja kuyimiriza Abaleevi mu maaso ga Alooni ne batabani be, olyoke obaweeyo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Onooteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abaleevi onoobateekawo baweerezenga Arooni ne batabani be, era onoobampongera Nze Mukama, babe bange mu ngeri ey'enjawulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oteeka Abaleevi mu maaso ga Alooni ne mu maaso ga batabani be, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa eri Mukama.