Numbers 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ng'omaze okubatukuza n'okubaweereza mu kitone eky'okuwuuba, banaayingira ne batandika okuweereza mu Weema ey'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ebyo nga biwedde Abaleevi banaayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ne baweereza, ng’omaze okubafuula abalongoofu era ng’obawaddeyo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobatukuza, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ng'omaze okubatukuza n'okubampongera babe bange mu ngeri ey'enjawulo, Abaleevi banaasaanira okukolanga ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza okw'omu weema ey'okusisinkanirangamu; naawe onoobalongoosa, n'obawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa.