Numbers 8:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bano be bampeereddwa nga baggyibwa mu Bayisirayeli; mbeerondedde okudda mu kifo ky'abaggulanda ba buli lubuto ab'Abayisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bampeereddwa ddala nga bava mu baana ba Isirayiri. Mbeetwalidde nga be bange ddala mu kifo ky’ababereberye, eky’abaana aboobulenzi ababereberye abazaalibwa buli mukazi Omuyisirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi okuva mu baana ba Isiraeri; mbeetwalidde mu kifo ky'ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bampeereddwa mu butongole okuva mu Bayisirayeli abalala. Mbeerobozezza babe bange mu kifo ky'abaggulanda ab'obulenzi b'Abayisirayeli abalala bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga baweereddwayo ddala gye ndi mu baana ba Isiraeri; naabeetwalira mu kifo ky'abo bonna abaggula nda, be babereberye ku baana ba Isiraeri bonna.