Numbers 8:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ebiggulanda byonna mu Yisirayeli ebisajja, mu bantu ne mu bisolo, byange. Ku luli lwe natta buli kiggulanda mu nsi y'e Misiri, nabyeyawulira bibeere byange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli ekizaalibwa kyonna mu Isirayiri ekisajja nga kibereberye, oba muntu oba nsolo, kyange. Bwe nazikiriza ebibereberye byonna eby’omu nsi y’e Misiri, ebya Isirayiri nabyeyawulirako ne biba byange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba muntu oba nsolo; ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri n'abeetukuliza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaggulanda bonna ab'obulenzi mu Bayisirayeli, bange, era na buli nsolo y'Abayisirayeli esooka okuzaalibwa, yange. Nabeeyawulira ku lunaku lwe nattirako abaggulanda bonna ab'obulenzi mu nsi y'e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ababereberye bonna mu baana ba Isiraeri bange, oba nga muntu oba nga nsolo: ku lunaku kwe nnakubira ababereberye bonna mu nsi y'e Misiri nabeetukuliza.