Numbers 8:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mbatonedde Aroni ne batabani be nga mbaggya mu Bayisirayeli bonna, balyoke bampeereze mu Weema ey'Ensisinkano ku lw'Abayisirayeli, baddaabirize ku lwabwe, akabi kaleme kugwira Bayisirayeli singa baba basemberedde Ekitukuvu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nzigye Abaleevi mu baana ba Isirayiri ne mbagabira Alooni ne batabani be ng’ekirabo, bakolererenga abaana ba Isirayiri nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu nga batangiririra abaana ba Isirayiri balemenga kulumbibwa kawumpuli nga babadde basemberedde awatukuvu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era mpaddeyo Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni ne batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okuweerezanga ku lw'abaana ba Isiraeri mu Weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga; walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, bwe banaasembera mu watukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nzigye Abaleevi mu Bayisirayeli abalala bonna, ne mbawaayo eri Arooni ne batabani be ng'ekirabo, bakolerenga Abayisirayeli omulimu gw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, era bawonyenga Abayisirayeli akabi akandibatuusengako singa basemberera Ekifo Ekitukuvu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mpadde Abaleevi okuba ekirabo eri Alooni n'eri batabani be nga mbaggya mu baana ba Isiraeri, okukolanga okuweereza kw'abaana ba Isiraeri mu weema ey'okusisinkanirangamu, n'okutangiriranga abaana ba Isiraeri: walemenga okuba ekibonyoobonyo kyonna mu baana ba Isiraeri, abaana ba Isiraeri nga basembera mu watukuvu.