Numbers 8:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Aroni nti: ‘Bw'oteekangayo ettawaaza, laba nti ettawaaza omusanvu zimulisa oludda olutunuulidde ekikondo ky'ettawaaza.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera ne Alooni omugambe nti, ‘Bw’oba oteekateeka ettaala omusanvu, zisaana zaake nga zimulisa ebbanga eryo eriri mu maaso g’ekikondo ky’ettaala.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yogera ne Alooni omugambe nti, “Bw'onoobanga oteeka ettaala omusanvu ku kikondo kyazo, onooziterezanga ne zimulisa mu maaso g'ekikondo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'onoobanga oteeka ettaala, ettaala omusanvu, ku kikondo kyazo, onoozitereezanga zimulise ebbanga eriri mu maaso g'ekikondo kyazo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera ne Alooni omugambe nti Bw'onookoleezanga ettabaaza, ettabaaza omusavu zinaayakiranga mu maaso g'ekikondo.