Numbers 8:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa ne Aroni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli Abaleevi ne babakola ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo Musa ne Alooni n’ekibiina kyonna eky’abaana ba Isirayiri ne bakola ku Baleevi ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Musa, Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri bwe baakola Abaleevi nga Mukama bwe yabalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa ne Arooni n'ekibiina kyonna eky'Abayisirayeli bwe batyo bwe baakola ku Baleevi. Baatuukiriza byonna Mukama bye yalagira Musa okukola ku Baleevi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Musa bwe yakola Abaleevi ne Alooni, n'ekibiina kyonna eky'abaana ba Isiraeri: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa ku Baleevi, bwe batyo abaana ba Isiraeri bwe baabakola.