Numbers 8:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaleevi beetukuza, ne bayoza ebyambalo byabwe, olwo Aroni n'abaweereza eri Omukama mu kitone eky'okuwuuba, n'addaabiriza ku lwabwe okubatukuza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaleevi ne bayoza engoye zaabwe, ne Alooni n’abawaayo ng’ekiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, n’abatangiririra okubafuula abalongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaleevi ne beetukuza okuva mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubatukuza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi ne beetukuza, ne booza engoye zaabwe; Arooni n'abawonga eri Mukama, babeere babe mu ngeri ey'enjawulo, era n'akola omukolo ogw'okubasonyiyisa ebibi, n'abatukuza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaleevi ne beerongoosa mu kibi, ne booza engoye zaabwe; Alooni n'abawaayo okuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa mu maaso ga Mukama; Alooni n'abatangirira okubalongoosa.