Numbers 8:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma Abaleevi bajja ku mulimu gwabwe mu Weema ey'Ensisinkano nga balagirirwa Aroni ne batabani be. Abaleevi ne babakola ng'Omukama bwe yali alagiridde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebyo bwe byaggwa Abaleevi ne bajja okukola omulimu gwabwe nga baweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga balabirirwa Alooni ne batabani be. Baakola byonna ku Baleevi nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okuweereza mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be; nga Mukama bwe yalagira Musa ebikwata ku Baleevi, nabo bwe batyo bwe baabakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli ne bakola byonna Mukama bye yalagira Musa okukola ku Baleevi. Ebyo bwe byaggwa, Abaleevi ne basaanira okukolanga omulimu gw'obuweereza mu Weema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, nga balabirirwa Arooni ne batabani be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma Abaleevi ne balyoka bayingira okukolanga okuweereza kwabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu mu maaso ga Alooni, ne mu maaso ga batabani be: nga Mukama bwe yali alagidde Musa ku Baleevi, bwe batyo bwe baabakola.