Numbers 8:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe bawezanga emyaka amakumi ataano, bawummulanga okuweereza kwabwe, tebongeranga kukola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye bwe banaawezanga emyaka egy’obukulu amakumi ataano banaawummuliranga ddala ne bava ku mirimu emitongole egya bulijjo ne bateeyongera kuweereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe banaawezanga emyaka ataano (50), banaalekeranga awo okuweereza mu Weema
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe banaawezanga emyaka amakumi ataano, banaalekeranga awo okukola omulimu gw'obuweereza, ne bawummula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe banaawezanga emyaka ataano, banaalekeranga awo okulwanira mu mulimu, nga tebakyaweereza;