Numbers 8:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakyayinza okusigala nga bakyayamba ku bannaabwe mu bisanja byabwe mu Weema ey'Ensisinkano, naye bo nga tebakyafuna bisanja. Bw'otyo bw'oba ogabira Abaleevi ebisanja byabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye banaayinzanga okudduukirirako ku booluganda abanaabanga bakola emirimu egyo mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, naye bo ku lwabwe tebaakolenga mirimu egyo mu butongole. Bw’otyo bw’onootegekanga emirimu gy’Abaleevi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa. Bw'otyo bw'onooteekateeka Abaleevi okutuukirizanga emirimu gyabwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaayinzanga okuyamba ku Baleevi bannaabwe, nga babalagirira okutuukiriza omulimu gwabwe ogw'obuweereza mu Weema Ey'Okunsisinkanirangamu, naye bo tebaakolenga mulimu. Bw'otyo bw'onootegeka Abaleevi okutuukirizanga omulimu gwabwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye banaakoleranga wamu ne baganda baabwe mu weema ey'okusisinkanirangamu, okukuuma bye baateresebwa, nga tebaweereza kuweereza kwonna. Bw'otyo bw'onookola Abaleevi mu ebyo bye baateresebwa.