Numbers 8:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Aroni bwe yakola: yateeka ettawaaza nga zitunuulidde mu maaso g'ekikondo ky'ettawaaza ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alooni n’akola bw’atyo; n’akoleeza ettaala ne zaaka nga zimulisa ebbanga eryali mu maaso g’ekikondo ky’ettaala, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alooni n'akola bw'atyo; n'ateeka ettaala ku kikondo ne zimulisa mu maaso g'ekikondo nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni n'akola bw'atyo, n'atereeza ettaala ne zimulisa ebbanga eriri mu maaso g'ekikondo kyazo, nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alooni n'akola bw'atyo; yakoleeza ettabaaza zaakyo okwakiranga mu maaso g'ekikondo, nga Mukama bwe yalagira Musa.