Numbers 8:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekikondo ky'ettawaaza kyali kikoleddwa bwe kiti: okuva ku ntobo yaakyo okutuusa ku bimuli byakyo kyali kikoleddwa mu zaabu omukubeekube. Musa yakola ekikondo ky'ettawaaza ng'agoberera entereeza Omukama gye yali amuwadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa mu ngeri eno: kyaweesebwa mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo. Ekikondo ky’ettaala kyakolebwa ng’ekifaananyi ekyokulabirako Mukama Katonda kye yalaga Musa bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekikondo kino kyaweesebwa kyonna mu zaabu okuva ku ntobo yaakyo okutuuka ku bimuli byakyo; ng'ekifaananyi kyakyo bwe kyali Mukama kye yalagira Musa. Naye bw'atyo bwe yakikola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekikondo kyali kiweeseddwa, nga kyonna kya zaabu okuva ku kikolo kyakyo, okutuuka ku matabi gaakyo. Kyali kiweeseddwa okufaananira ddala ekyokulabirako Mukama kye yalaga Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era guno gwe gwali omulimu ogw'ekikondo, mulimu gwa zaabu mpeese; okutuuka ku ntobo yaakyo, n'okutuuka ku bimuli byakyo, kyali mulimu muweese: ng'ekyokulabirako bwe kyali Mukama kye yalaga Musa, bw'atyo bwe yakola.