Numbers 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okubatukuza ojja kukola bw'oti: Bamansire amazzi agatukuza, obagambe bamwe buli kooya konna akabaliko, booze n'engoye zaabwe, olwo obatukuze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okubafuula abalongoofu ojja kukola bw’oti: bamansireko amazzi ag’obulongoofu, obalagire bamwe omubiri gwabwe gwonna, era booze n’engoye zaabwe, bwe batyo bafuuke abalongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bw'oti bw'onoobakola okubatukuza: nga omansira ku bo amazzi ag'okubatangirira, era beemwe omubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beetukuze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Onoobatukuza bw'oti: onoobamansirako amazzi agaateekebwawo okunaazangako ebibi, beemwe omubiri gwonna, era booze engoye zaabwe, beetukuze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'onoobakola bw'oti okubalongoosa: mansira ku bo amazzi ag'okutangirira, era akamwano bakayise ku mubiri gwabwe gwonna, booze engoye zaabwe, beerongoose.