Numbers 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: ‘Omu mu mmwe oba mu bazzukulu bw'abanga nga si mulongoofu olw'omufu, oba ng'abadde wala ku lugendo, era akyasobola okukuza Pasika ku lw'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera eri abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omu ku mmwe, oba omu ku bazzukulu bammwe ab’omu mirembe egiriddawo, singa afuuka atali mulongoofu olw’okukwata ku mufu, oba nga taliiwo yagenda olugendo olw’ewala, anaakwatanga Embaga ey’Okuyitako eya Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri nti, Omuntu yenna ku mmwe oba mu mirembe gyammwe, bw'anaabanga nga si mulongoofu olw'okukwata ku mulambo, oba bw'anaabanga atambudde olugendo olw'ewala, n'oyo naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
agambe Abayisirayeli nti: “Abamu mu mmwe, oba mu bazzukulu bammwe, bwe bataabenga balongoofu olw'okukwata ku mufu, oba bwe banaabeeranga mu lugendo ewala, banaayinzanga okuwaayo eri Mukama ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba abaana ba Isiraeri nti Omuntu yenna ku mmwe oba ku mirembe gyammwe bw'anaabanga si mulongoofu olw'omulambo, oba bw'anaabanga ali mu lugendo ewala, naye anaakwatanga Okuyitako eri Mukama: