Numbers 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'engeri eyo ba kugikuzanga mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi; balyanga akaliga n'emigaati egitazimbulukuse okuli n'enva z'ettale ezikaawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Banaakwatanga embaga eyo ku lunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogwokubiri akawungeezi. Omwana gw’endiga banaagulyanga n’omugaati ogutali muzimbulukuse n’enva ez’ebikoola ebikaawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu mwezi ogwokubiri, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya, akawungeezi, kwe banaakukwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukusiddwa n'enva ezikaawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaakiwangayo mu mwezi ogwokubiri, akawungeezi, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya. Banaakiriirangako migaati egitazimbulukusiddwa, n'enva endiirwa ezikaawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
mu mwezi ogw'okubiri ku lunaku olw'ekkumi n'ennya akawungeezi kwe banaakukwatiranga; banaakulyanga n'emigaati egitazimbulukuswa n'enva ezikaawa: