Numbers 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tebalekangawo kantu okutuusa enkeera, era akaliga tebakamenyangako ggumba na limu. Bwe bakuzanga Pasika, batuukirizanga amateeka gaayo gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebagulekangawo okutuusa enkeera, wadde okumenya ku magumba gaagwo. Bwe banaakwatanga Embaga ey’Okuyitako kinaabasaaniranga okukola ng’amateeka g’embaga eyo bwe galagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tebabirekangawo okutuusa enkya, era endiga gye basse okulya, tebaagimenyenga ggumba na limu; ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri, bwe banaakukwatanga bwe batyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Tebaabengako kye basigazaawo okutuuka enkeera, era ensolo gye basse okulya, tebaagimenyenga ggumba na limu. Banaakuumanga amateeka gonna ag'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ne bagatuukiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
tebasigazangako okutuusa enkya, so tebamenyanga ggumba lyakwo: ng'etteeka lyonna ery'Okuyitako bwe liri bwe banaakukwatanga bwe batyo.