Numbers 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Naye oli bw'abanga nga mulongoofu, era nga tali mu lugendo, n'amala tatukuza Pasika ku lw'Omukama, akutulwanga ku bantu be, kubanga teyaweereza Mukama kitambiro mu budde bwakyo obulagiddwa; omuntu oyo aneetikkanga omusango gw'ekibi kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuntu omulongoofu ate nga teyagenda lugendo, kyokka n’atakwata Mbaga ey’Okuyitako, anaawaŋŋangusibwanga n’ava mu banne, kubanga teyaleeta kiweebwayo kya Mukama Katonda mu ntuuko zaakyo. Ekibi ky’omuntu oyo kinaabeeranga ku mutwe gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna omulongoofu, ate nga tali mu lugendo, ataakwatenga Kuyitako mu ntuuko zaakwo, era ataaweengayo kiweebwayo kya Mukama ekyalagirwa, anaabeerangako ekibi kye, era takkirizibwenga kukwata Kuyitako mu mwezi ogwokubiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye omulongoofu era nga tali mu lugendo, anaalemwanga okuwaayo ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako anaaboolebwanga mu bantu be, kubanga tawadde Mukama kitone mu kiseera kyakyo ekyalagirwa. Omuntu oyo anaavunaanibwanga olw'ebibi bye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye omuntu omulongoofu so atali mu lugendo, n'aleka okukwata Okuyitako, obulamu obwo bunaazikirizibwanga mu bantu be: kubanga tawaddeeyo kitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa, omuntu oyo anaabangako ekibi kye.