Numbers 9:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'omugwira asula mu mmwe bw'ayagalanga okukuza Pasika, agobereranga amateeka gaayo n'emikolo gyayo. Mubanga n'etteeka limu, omuzaaliranwa n'omugwira.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Omunnaggwanga anaabeeranga mu mmwe bw’anaabanga ayagala okukwata Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda anaagikwatanga ng’agoberera amateeka n’ebiragiro byayo. Munaabanga n’ebiragiro byebimu ebinaagobererwanga bannaggwanga era ne bannansi.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu nnaggwanga ali mu mmwe bw'anaayagala okukwata okuyitako eri Mukama ng'etteeka ly'okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe kuli, anaakolanga bwatyo. Etteeka linaabanga limu eri munnaggwanga n'omuzaaliranwa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era omugwira abeera mu mmwe anaayagalanga okuwaayo eri Mukama ekitambiro eky'Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, anaatuukirizanga etteeka ly'embaga eyo era n'obulombolombo bwayo. Etteeka eryo linaabanga lye limu ku mugwira ne ku muzaaliranwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omugenyi bw'anaatuulanga mu mmwe, n'ayagala okukwata Okuyitako eri Mukama; ng'etteeka ery'Okuyitako n'obulombolombo bwakwo bwe buli, bw'anaakolanga bw'atyo: munaabanga n'etteeka limu eri omugenyi era n'eri oyo eyazaalirwa mu nsi.