Numbers 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lunaku lwennyini Ekisulo, kwe kugamba Weema y'Endagaano, lwe kyasimbibwa, ekire kyakibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire nga kiri ng'omuliro ku Kisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku Weema ya Mukama ey’Endagaano lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi okutuusa ku makya ekire ekyali waggulu wa Weema ne kifaanana ng’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ku lunaku Eweema kwe yasimbirwa, ekire ne kibikka ku Weema ey'obujulirwa; era akawungeezi ne kiba ku weema ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku Eweema Entukuvu, Eweema ey'Okusisinkanirangamu Mukama, lwe yasimbibwa, ekire ne kigibikka. Okuva akawungeezi, ekire ne kiba ng'omuliro okutuusiza ddala ku makya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ku lunaku enayumba kwe yasimbirwa ekire ne kibikka ku nnyumba y'eweema ey'obujulirwa: era akawungeezi ne kiba ku nnyumba ng'ekifaananyi ky'omuliro, okutuusa enkya.