Numbers 9:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekire bwe kyasitukanga okuva ku Weema olwo n'Abayisirayeli nga basitula; ate we kyakkanga, nga nabo awo we basiisira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, olwo abaana ba Isirayiri ne basitula mu lugendo lwabwe; era awo ekire ekyo we kyayimiriranga, nga n’abaana ba Isirayiri we basiisira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli ekire lwe kyaggibwanga ku Weema, abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula; ate mu kifo ekire we kyayimiriranga, abaana ba Isiraeri we baasiisiranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekire buli lwe kyaggyibwanga ku Weema, Abayisirayeli ne batandika okutambula. Mu kifo we kyayimiriranga, awo we baasiisiranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli ekire lwe kyaggibwangako ku Weema, awo abaana ba Isiraeri ne balyoka batambula: ne mu kifo ekire mwe kyabeeranga, awo abaana ba Isiraeri we baasiisiranga.