Numbers 9:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yalagiranga, nga basitula; ate bwe yalagiranga, nga basiisira. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga nga kiri ku Kisulo, nga basigala awo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama bwe yalagiranga abaana ba Isirayiri okusitula mu lugendo lwabwe, nga basitula; Mukama bwe yabalagiranga okukuba olusiisira nga bakola bwe batyo. Ebbanga lyonna ekire lye kyamalanga waggulu wa Weema nga nabo lye bamala mu lusiisira lwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama; ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku Weema basigalanga mu lusiisira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baatambulanga nga Mukama amaze kubalagira, era baasiisiranga ng'amaze kubalagira. Ekiseera kyonna ekire kye kyabeeranga ku Weema Entukuvu, baasigalanga mu lusiisira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri baatambulanga lwa kiragiro kya Mukama, era baasiisiranga lwa kiragiro kya Mukama: ekiseera kyonna ekire kye kyamalanga ku nnyumba baatuulanga mu lusiisira.