Numbers 9:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekire bwe kyalwanga ku Kisulo, Abayisirayeli baakwatanga Omukama kye yabakuutira, tebaasitulanga kweyongerayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekire ne bwe kyamalanga ennaku ennyingi waggulu wa Weema, abaana ba Isirayiri baagonderanga ekiragiro kya Mukama Katonda ne batasitula kutambula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekire bwe kyamalanga ennaku nnyingi ku Weema, abaana ba Isiraeri bakwatanga ekiragiro kya Mukama ne batatambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekire bwe kyamalanga ennaku ennyingi nga kiri ku Weema Entukuvu, Abayisirayeli baagonderanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekire bwe kyalwanga ennaku nnyingi ku nnyumba, awo abaana ba Isiraeri ne bakwatanga ekiragiro kya Mukama, ne batatambula.