Numbers 9:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abayisirayeli bakuze Pasika mu budde bwayo obulagiddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lagira abaana ba Isirayiri bakwatenga Embaga ey’Okuyitako mu ntuuko zaayo nga bwe kyalagirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abayisirayeli era bategeke Embaga Ejjuukirirwako Okuyitako, ebeerewo mu biseera byayo ebyalagirwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abaana ba Isiraeri bakwatenga Okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa.