Numbers 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku Kisulo; ng'Omukama bw'ayagadde, nga basiisira; ate ng'Omukama bw'ayagadde nga basitula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono waggulu wa Weema; naye ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyali, nga basigala mu lusiisira lwabwe; kyokka oluvannyuma nga basitula okutambula ng’ekiragiro kya Mukama Katonda bwe kyabanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku Weema ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, olwo ng'abaana ba Isiraeri baasigala mu lusiisira ne batatambula. Ekire bwe kyaggibwanga ku Weema ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali, ne batambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku Weema Entukuvu. Era nabo baagonderanga ekiragiro kya Mukama, ne basigala mu lusiisira. Bwe yabalagiranga okutambula, nga batambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oluusi ekire kyamalanga ennaku ntono ku nnyumba; awo ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali ne batuulanga mu lusiisira, era ng'ekiragiro kya Mukama bwe kyali baatambulanga.