Numbers 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe kyamalangawo ennaku ebbiri oba omwezi, oba okusingawo, nga kiri ku Kisulo, Abayisirayeli nga basiisira awo ebbanga lyonna. Olwasitukanga, nga nabo basitula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekire ne bwe kyabeeranga waggulu wa Weema okumala ennaku ebbiri oba omwezi, abaana ba Isirayiri nga babeera awo mu lusiisira lwabwe nga tebasitula kutambula; naye bwe kyaggyibwangawo ng’olwo basitula okutambula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekire bwe kyabikkanga ku weema okumala ennaku bbiri, oba mwezi oba mwaka, abaana ba Isiraeri baasigalanga mu lusiisira nga tebatambula, naye bwe kyaggyibwangako olwo ne balyoka batambula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekire ne bwe kyamalanga ku Weema Entukuvu ennaku ebbiri, oba omwezi, oba okusingawo, Abayisirayeli nga basigala mu lusiisira, ne batatambula. Naye bwe kyaggyibwangawo, nga batambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba nga nnaku bbiri oba nga mwezi oba nga mwaka, ekire bwe kyalwanga ku nnyumba, nga kibeera okwo, abaana ba Isiraeri ne batuulanga mu lusiisira, ne batatambula: naye bwe kyaggibwangako, ne batambulanga.