Numbers 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagikuze mu budde bwayo obulagiddwa: ku lw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno akawungeezi, nga bagoberera amateeka gaayo gonna n'emikolo gyayo gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugikwatanga mu ntuuko zaayo ezaalagirwa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno nga buwungeera, ng’amateeka n’ebiragiro byako bwe bigamba.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakwatiranga okuyitako mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa; ng'amateeka gaakwo n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, mugitegeke ebeerewo mu biseera byayo ebyalagirwa, nga mugoberera amateeka gaayo gonna n'obulombolombo bwayo bwonna.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi guno, akawungeezi, kwe munaakukwatiranga mu ntuuko zaakwo ezaalagirwa: ng'amateeka gaakwo gonna n'obulombolombo bwakwo bwonna bwe buli, bwe munaakukwatanga bwe mutyo.