Numbers 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nabo ne bagikuza mu ddungu ly'e Sinayi, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi. Baakola byonna ng'Omukama bwe yali alagidde Musa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ne bakola bwe batyo mu Ddungu lya Sinaayi ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye nga buwungeera. Abaana ba Isirayiri baakola ebyo byonna nga Mukama bwe yalagira Musa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogwolubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bagitegeka n'ebaawo mu Ddungu ly'e Sinaayi, akawungeezi, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogusooka, nga bagoberera byonna Mukama bye yalagira Musa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bakwatira Okuyitako mu mwezi ogw'olubereberye, ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi, akawungeezi, mu ddungu lya Sinaayi: nga byonna bwe byali Mukama bye yalagira Musa, bwe batyo bwe baakola abaana ba Isiraeri.