Numbers 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne wabaawo abataali balongoofu olw'omuntu eyali afudde, nga tebasobola kukuza Pasika ku olwo, ne bajja eri Musa ne Aroni ku olwo
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye waaliwo abantu abamu abataasobola kukwata Mbaga ey’Okuyitako ku lunaku olwo, kubanga tebaali balongoofu olwokubanga baali bakutte ku mufu. Bwe batyo ne bajja eri Musa ne Alooni ku lunaku olwo lwennyini,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu gwe baakwatako, n'okuyinza ne batayinza kukwata Kuyitako ku lunaku olwo. Abantu abo ne bajja eri Musa ne Alooni
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne wabaawo abantu abataali balongoofu kubanga baali bakutte ku mufu, ne batayinza ku lunaku olwo kukola mikolo gya Mbaga Ejjuukirirwako Okuyitako. Ne bajja mu maaso ga Musa ne Arooni ku lunaku olwo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne wabaawo abantu abaali nga si balongoofu olw'omulambo gw'omuntu, n'obutayinza ne batayinza kukwatira Kuyitako ku lunaku olwo: ne bajja mu maaso ga Musa ne Alooni ku lunaku olwo: