Numbers 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne babagamba nti: “Tetuli balongoofu olw'omuntu eyafudde, lwaki tulyazaamaanyizibwa ne tutasobola kutambirira Mukama mu budde obulagiddwa wamu n'Abayisirayeli abalala?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bagamba Musa nti, “Tetuli balongoofu kubanga twakutte ku mufu; lwaki tugaanibwa okuleetera Mukama ekiweebwayo kye, awamu n’abaana ba Isirayiri, mu ntuuko zaakyo ezaalagirwa?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne bamugamba nti, “Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu gwe twakutteko; naye kiki ekitulobera okuwaayo ekiweebwayo kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne bagamba nti: “Tetuli balongoofu, kubanga twakutte ku mufu. Naye tuyinza okukkirizibwa okuweerayo awamu ne Bayisirayeli bannaffe ekitone eri Mukama, mu biseera byakyo ebyalagirwa?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abantu abo ne bamugamba nti Tetuli balongoofu olw'omulambo gw'omuntu: ekituziyiza kiki okuwaayo ekitone kya Mukama mu ntuuko zaakyo mu baana ba Isiraeri?