Numbers 9:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'abaanukula nti: “Mulindeeko, mmale okuwulira Omukama ky'agamba ku mmwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa n’abaddamu nti, “Mulinde mmale okumanya Mukama Katonda ky’anandagira ku nsonga yammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'abagamba nti, “Musooke muleke mmale okubuuza Mukama mpulire ky'anaalagira ku mmwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abaddamu nti: “Musooke mulindeko mmale okuwulira Mukama ky'anaalagira ku mmwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'abagamba nti Musooke muleke; ndyoke mpulire Mukama ky'anaalagira ku mmwe.