Obadiah 1:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ettemu lye wakolera muganda wo Yakobo, ensonyi kyeziriva zikubikka; olizikirizibwa emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo, oliswazibwa. Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'obukambwe obwakolebwa ku muganda wo Yakobo, olijjula ensonyi era oliggibwawo emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olw'okukambuwalira baganda bammwe bazzukulu ba Yakobo, mulizikirizibwa ne muswazibwa ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wagirira amaanyi muganda wo Yakobo, ensonyi zirikukwata era oliggibwawo emirembe gyonna.