Obadiah 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ku luli lwe weerimba ku bbali ng'abagwira banyaga obugagga bwe, abagwira ne bayingira mu miryango gye, Yeruzaalemu ne bamukubako akalulu, wali ng'omu ku bo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo, nga banyaga obugagga bwa Isirayiri, ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye, ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi, wali omu ku bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunnaku abayise lwe baanyaga ebintu bye, ne bannamawanga ne baayingira mu nzigi ze eza wankaaki, ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe wafaanana ng'omu ku abo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ku lunaku abalabe lwe baamenya enzigi zaabwe, mwayimirira awo ku mabbali. Nammwe mwali babi ng'abagwira abo, abaanyaga ebintu mu Yerusaalemu ne babigabana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ku lunaku lwe wayimirira ku mabbali, ku lunaku abayise lwe baanyaga ebintu bye n'abagenyi lwe baayingira mu nzigi ze eza wankaaki ne bakuba akalulu ku Yerusaalemi, naawe n'ofaanana ng'omu ku abo.