Obadiah 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewanditunuulidde butunuulizi otyo muganda wo ku lunaku lw'obulemu bwe; tewandisanyuse lwa bantu ba Yuda ku lunaku lw'okuzikirira kwabwe; tewandyenyumirizza mu lunaku lw'obuyinike bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tosaanye kusekerera muganda wo mu biseera bye eby’okulaba ennaku, wadde okusanyuka ku lunaku olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda, newaakubadde okwewaana ennyo ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe tewanditunuulidde na ssanyu lunaku lwa mugandawo, olunaku olw'okugwirwako akabi, era tewandisanyukidde lunaku olw'okuzikirira kw'abantu ba Yuda; tewandikudaalidde lunaku olw'obuyinike bwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwali temusaanidde kusanyukira lunaku baganda bammwe ab'omu Buyudaaya lwe baatuukibwako akabi, era lwe baazikirira. Mwali temusaanidde kubasekerera nga bali mu buyinike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye totunuulira lunaku lwa muganda wo ku lunaku olw'okugwirwako akabi, so tosanyuka olw'abaana ba Yuda ku lunaku olw'okuzikirira kwabwe; so teweekuza n'akamwa ko ku lunaku olw'akabi.