Obadiah 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewandiyingidde mu miryango gya bantu bange, ku lunaku lw'obuyinike bwe; era tewanditunudde butunuzi otyo ku lunaku lwe yali mu kacwano ku lunaku lw'obuyinike bwabwe; tewandinyaze bintu byabwe ku lunaku lw'obuyinike bwabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange ku lunaku kwe baalabira obuyinike, wadde okubasekerera ku lunaku kwe baabonaabonera, newaakubadde okutwala obugagga bwabwe ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewandiyingidde mu luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku lwe balabiramu ennaku; so naawe tewandikudaalidde kubonaabona kwabwe lunaku kwe balabira ennaku, era tewandinyazze bintu byabwe ku lunaku lwe balabiramu ennaku.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwali temusaanidde kuyingira mu kibuga kya bantu bange, okusanyuka nga babonaabona, n'okunyaga ebintu byabwe ku lunaku lwe baagwa mu kabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toyingiranga mu luggi olwa wankaaki olw'abantu bange ku lunaku mwe balirabira ennaku; so naawe totunuuliranga kabi kaabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku so temukomanga ku bintu byabwe ku lunaku mwe balirabira ennaku.