Obadiah 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewanditeeze mu masaŋŋanzira kutta bantu baabwe abaasigalawo; tewandiwaddeyo bakaawonawo mu bo ku lunaku lwabwe olw'obuyinike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temulindira mu masaŋŋanzira okutta abo abadduka, wadde okuwaayo abawonyeewo mu biro eby’okulabiramu ennaku.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewandiyimiridde mu masaŋŋanzira okuzikiriza abantu be abawonawo; era tewandiwaddeyo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwali temusaanidde kuyimirira mu masaŋŋanzira okukwata abo abadduka, n'okubawaayo eri abalabe ku lunaku lwe baagwibwako akabi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So toyimiriranga mu masaŋŋanzira okuzikiriza abantu be abawona; so towangayo bantu be abasigalawo ku lunaku olw'akabi.