Obadiah 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Olunaku lw'Omukama luli kumpi ku lw'amawanga gonna. Nga bwe wakola, naawe bwe kirikukolerwa; ebikolwa byo birikuddira ku mutwe gwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira amawanga gonna omusango. Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa. Ebikolwa byammwe biribaddira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olunaku lwa Mukama lusemberedde amawanga gonna, nga bwe wakola bwe kityo naawe bwe kirikukolebwa; byonna by'okola biridda ku mutwe gwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Olunaku lunaatera okutuuka, nze Mukama lwe ndisalirako amawanga gonna omusango. Ggwe Edomu, kye wakola, naawe kye balikukola. Bye wakola birikuddira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olunaku lwa Mukama lusemberedde amawanga gonna: nga bwe wakola bwe kityo bwe kirikukolebwa ggwe; by'okola biridda ku mutwe gwo.