Obadiah 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe mwanywera ku lusozi lwange olutukuvu, n'amawanga gonna bwe galinywa obutasalako. Balinywa ne bamira bugobo, ne baba ng'abatabeerangawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma; balikinywa, babe ng’abataganywangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nga bwe mwanyweranga ku lusozi lwange olutukuvu, bwe kityo amawanga gonna bwe ganaanywanga; weewaawo, ganaanywanga ne gatagatta era galiba ng'agatabangawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bange baanywera ku lusozi lwange olutukuvu ekikopo ekikaawa eky'okubonaabona. Naye amawanga gonna ageetooloddewo, galinywa ekikopo eky'okubonaabona ekikaawa okusingawo. Galikinywa kyonna, ne gasaanirawo ddala.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe mwanyweranga ku lusozi lwange olutukuvu, bwe kityo amawanga gonna bwe ganaanywanga ennaku zonna; weewaawo, ganaanywanga ganaamiranga galiba ng'agatabangawo.