Obadiah 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyumba ya Yakobo eriba muliro, n'eya Yozefu, lulimi lwa muliro, yo ennyumba ya Ezawu eriba ssubi; baligiteekera omuliro ne gugisenkenya. Mu nnyumba ya Ezawu temuliba awona.” Omukama y'ayogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro, n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro. Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku, era baligyokya n’eggwaawo. Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu n’omu alisigalawo, kubanga Mukama akyogedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro; n'ennyumba ya Esawu eriba ssubi; baalibokya nabo balyaka, balibazikiririza ddala; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'ennyumba ya Yakobo ne Yosefu baliba ng'omuliro: balyokya ab'ennyumba ya Esawu ng'omuliro bwe gwokya ekisambu. Tewaliba n'omu ow'ennyumba ya Esawu alisigalawo nga mulamu. Nze Mukama, nze njogedde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ennyumba ya Yakobo eriba muliro n'ennyumba ya Yusufu eriba lulimi olw'omuliro n'ennyumba ya Esawu nsambu, nabo balyaka gye bali, balibazikiriza; so tewaliba muntu wa mu nnyumba ya Esawu alisigalawo; kubanga Mukama ye akyogedde.