Obadiah 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'omu Negevu balitwala olusozi lwa Ezawu; abantu b'omu Sefela baliwamba ensi y'Abafilisitiini, balyetwalira ensi ya Efurayimu n'ensi ya Samariya; Benyamiini alitwala Gileyaadi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abantu b’e Negebu balitwala olusozi Esawu, n’abantu ab’omu biwonvu balitwala ensi y’Abafirisuuti. Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya, ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo abe Negebu balyetwalira olusozi, nabo abe Sefala balitwala ensi y'Abafirisuuti; balitwala ensi ya Efulayimu, n'ensi ey'e Samaliya era Benyamini alitwala Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi ya Edomu erifuuka y'abo ab'omu bukiikaddyo. N'ensi y'Abafilistiya eriba y'abo ab'omu bugwanjuba. Abayisirayeli balyefuga ensi ya Efurayimu n'ey'e Samariya. Era Gileyaadi eriba ya ba Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'olusozi lwa Esawu lulifuuka lw'abo ab'obukiika obwa ddyo; ensi y'Abafirisuuti eriba y'abo ab'ensenyi; era bo balirya ennimiro ya Efulayimu, n'ennimiro ey'e Samaliya: era Gireyaadi eriba ya Benyamini.